NRM etandise okuwuliriza okwemulugunya kw’abatakkaanga na byava mu kamyufu k’ekibiina – CBS FM

Date:

Ab’akakiiko akatawulula enkaayana z’ebyokulonda mu NRM mu butongole katandise okuwuliriza okwemulugunya kw’abaavuganya okukwatira ekibiina bendera ku bifo by’obubaka bwa parliament,  mu kamyufu akaaliwo nga 17 July,2025.

 

Abaawangudde bebagenda okuweebwa kaadi y’ekibiina mu kalulu ka bonna ak’omwaka ogujja 2026.

Waliwo bannakibiina abeemulugunya ku byavaamu, nga balumiriza bannaabwe abaalangirirwa ku buwanguzi nti beenyigira mu vvulugu  omwali okubba obululu, okugulirira abalonzi n’abaakuliramu eby’okulonda n’ebirala.

Ab’akakiiko kano batudde ku kitebe ky’ekibiina ku Kyaddondo Road mu Kampala.

Munnamateeka w’ekibiina Enoch Barata agambye nti baakafuna abantu 25 abataddeyo okwemulugunya kwabwe ku byava mu kulonda kw’akamyufu ng’abasinga ku bano balumiriza nti abaakuliramu eby’okulonda bennyini bebaakyangakyanga ebyava mu kulonda nebalangiriramu abataawangula.

Agambye nti basuubira n’abalala bangi kubanga okwemulugunya bakuwulira eyo mu bantu.#

Share post:

Popular

Also Read

Jowy Landa Opens Up About Abuse and Manipulation by Ex-Manager Francis

Singer Jowy Landa has opened up about her former...

Bebe Cool Denies Feud With Joshua Baraka, Apologizes Over Omulangira Ndausi Claims

Singer Bebe Cool has openly denounced Omulangira Ndausi’s statements...

Behind the Love Songs: Pallaso Says Mowzey Radio Was Uganda’s Biggest Gangster

Singer Pallaso has branded the late Mowzey Radio as...

Col. Edith Nakalema Alleges Stellah Nantumbwe Left Marriage with Husband’s Property

Senior Presidential Advisor and Head of the State House...