Eyali omulamuzi wa kooti ensukkulumu, omusomesa w’amateeka, era omuwandiisi w’ebitabo Prof. George Wilson Kanyeihamba aziikiddwa olwa leero nga 29 July,2025, mu maka ge agasangibwa e Buziga mu gombolola ye Makindye mu Kampala.
Prof. Kanyeihamba yafa nga 14 July,2025 mu ddwaliro e Nakasero, ku myaka 85 egy’obukulu.
Aziikiddwa ebikumi n’ebikumi by’abakungubazi abavudde mu buweereza obwenjawulo.
Wasooseewo okumusabira okutegekeddwa mu kisaawe ky’essomero lya Kabojja International School ettabi Buziga eririnaanye amaka ge, n’oluvannyuma n’aziikibwa mu maka ge.
Aziikiddwa mu bitiibwa by’eggwanga ebijjuvu, era government emukubidde emiziinga 6, olw’emirimu geyakolera eggwanga wakati mu kwewaayo n’obuteebalira mu buweereza bwonna bweyalimu.
Okumusabira kukulembeddwamu omuyambi w’Omulabirizi wa Kampala Diocese, Rt.Rev. Can. Jackson Fredrick Baalwa.
Can. Baalwa akubirizza bannauganda okulabira ku birungi ebikoleddwa Kanyeihamba, naddala nga bakulembeza obwenkanya mu buli kyebakola.
Bishop wa Kigezi Diocese Rt.Rev.Gaddie Akanjuna agambye nti Kanyeihamba abadde mu musaale mu nkulaakulana y’eggwanga, era okumululo gwalese gubadde gw’amaanyi.
Bishop Akanjuna agambye nti Kanyeihamba yoomu ku baataandika Kabale University.
Abantu abalala bangi Prof. Kanyeihamba bamwogedde ebintu bingi, nga munnamateeka, munnabyabufuzi, omusomesa w’amateeka, omukulembeze n’ebintu ebirala bingi.
Abalamuzi ne bannamateeka bangi betabye mu kuziika Prof.Kanyeihamba nga bakulembeddwamu Ssaabalamuzi Alphonse Awinyi Ddollo