Parliament ya Uganda etonzeewo akakiiko aketeengeredde akagenda okukola ku nsonga z’ettaka – CBS FM

Date:

Parliament kyaddaaki eyawuddemu akakiiiko kaayo akalondoola ebyentambula ,enguudo , amayumba ,ebizimbe n’emirimu egigasiza awamu abantu,  kati etonzeewo akakiiko aketongodde akalondoola ensonga zeby’ettaka

Akakiiko kano katuumiddwa committee on Lands.

Katondeddwaawo oluvanyuma lwennongosereza mu mateeka agafuga parliament ezaakolebwa akakiiko ka parliament akakwasisa empisa.

Parliament  yakaanya era neeyisa nti akakiiko akaawamu akalondoola ettaka,amayumba ,enguudo nebyemtambula kaalina emirimu mingi, kwekusalawo kaawulwemu etondewo akakiiko aketongodde akalondoola eby’ettaka.

Ekibiina ekiri mu buyinza ekya NRM kironze omubaka we Buyamba,  Ssemwanga Gyaviira okubeera ssentebbe waako asookedde ddala,  wakumyuukibwa omubaka we Omoro, Andrew Ojok Oulanyah nababaka abalala abagenda okubeera ba memba.

Akakiiko Kano kegase ku bukiiko obulala obubaddewo okuli akalondoola ebyobulamu,akalondoola ebyobulimi ,akalondoola ekikula kyabantu,akalondoola ebyenfuna ,akalondoola ebyobusuubuzi ,akalondoola ebyamateeka, akalondoola ebyempuliziganya ne tekinologiya,akalondoola obutonde bwensi nobulala

Ababaka abassiddwa ku bukiiko bakubutuulako okutuuka ku nkomerero y’omwaka gwekisanja kya parliament eye 11  ogusembayo, kigwako mu May 2026.

Sipiika wa Parliament Annet Anita Among ayise ba ssentebe bobukiiko bwonna abaalondeddwa, abasisinkane olwaleero nga 30 July,2025 okukaanya ku mirimu parliament gyegenda okusaako essira mu mwaka guno ogusembayo ogwa palament eye 11.#

Share post:

Popular

Also Read

Uproar as Parliament suspends rules to rubber stamp UGX 1.1 trillion spending spree – UG Standard

KAMPALA, Uganda — Parliament on Tuesday passed a 1.1...

Centenary Bank targets female entrepreneurs with UGX 36.1 billion facility

KAMPALA, Uganda — Centenary Bank has targeted women-led enterprises...

Spice Adopts Nakimuli Name, Impressed By Uganda Experience, Lauds Cindy Sanyu’s Fearless Style Eyes Collaboration

Jamaican dancehall singer, real name Grace Latoya Hamilton, has...

Joshua Baraka Reveals He Is Fully Independent and Focused on Building His Own Team

Singer Joshua Baraka has addressed the ongoing rumors regarding...