President wa National Unity Platform Robert Kyagulanyi Ssentamu Bobi Wine alabudde banna kibiina kino abataweereddwa kaadi z’akibiina ku mutendera gwa government ez’e bitundu,obutatemamu kibiina wabula bawagire ababawangudde mu kasunsula k’e kibiina.
Kyagulanyi okuyisa okulabula kuno kijidde mu kiseera ng’akakiiko ak’ebyokulonda mu kibiina kino ekya NUP, kakafulumya ebyavudde mu kusunsula abesimbyewo ku mutendera gwa government ez’ebitundu.
E Kampala kaddi ya meeya eweeredwa Balimwezo Nsubuga,Kaadi ya Mayor we Nakawa bajiwadde Buken Ali Nubian LI,Makindye Lusagala Bosco,Kampala Central bagiwadde Katabbu Moses,Kawempe bajiwadde Sserungiji Emmanuel,Lubaga bajiwadde Mberaze Zaake Mawula
District ye Buvuma kubwa Ssentebe kaadi eweredwa Onyango Daniel Opondo,Lwengo bawadde Kizito Abaasi n’abalala
Kyagulanyi Robert Ssentamu agambye nti kano si kekaseera ekibiina okufuna enjawukana olwakaadi ezigabiddwa, wabula kiseera kyakukolera wamu nakulaba banna kibiina abatuufu.
Kyagulanyi ajukiza banna kibiina nti abavuganya ku kaadi y’ekibiina babaddeko bangi ate nga bonna tebasobola kuwebwa kaadi emu, era nasaba ekibiina okwesiga akakiiko k’ebyokulonda olw’omulimu gwebakoze
Wabula waliwo abaweredwa kaadi z’ekibiina naye nga ebifo sigyebaasaba.
Ekibiina ki National Unity Platform kitaddewo akakiiko akakulirwa omubaka Aisha Kabanda akagenda okuwuliriza abamulugunya, era nga omulimu guno kakugukolera ennaku 2 zokka okusinziira ku ssabawandiisi w’ekibiina kino David Lewis Rubongoya
Bisakiddwa: Lukenge Sharif