Okusabira Ssaabasajja Kabaka okwetoloola Buganda – okukuza amatikkirwa ge ag’emyaka 32 – CBS FM

Date:

 

Mu kwetegekera okujjukira emyaka 32 egy’amatikkirwa ga Ssaabasajja  Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II, wategekeddwawo okusaba okwenjawulo mu masiinzizo  g’abagoberezi ba Kristu okwetoloola Buganda, okwebaza Katonda olw’Ebirungi byawadde Empologoma ya Buganda.

Okusaba kw’amatikkirwa kwakubaawo nga 31 July,2025 ku muzikiti e Kibuli.

Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga aweerezza obubaka eri abagoberezi ba kristu mu kusaba kwa Sunday mu masiinzizo egenjawulo.

Mu kitambiro kya Mmisa ku lutikko e Lubaga,  Obwakabaka bukiikiriddwa ministet avunaanyizibwa ku bantu ba Kabaka ebweru wa Buganda n’Okulambula kwa Ssaabasajja Owek Joseph Kawuki.

Minister wa Bulungibwansi, Obutondebwensi , Amazzi n’ekikula ky’Abantu Owek Mariam Mayanja Nassejje ali Namirembe.

 

Owek Isreal Kazibwe Kitooke minister w’Amawulire ,Okukunga abantu era omwogezi w’Obwakabaka ali ke Eklesia y’Ab’Orthodox e Namungoona.

Abaami ba Ssaabasajja Kabaka ku mutendera gw’Amasaza nabo basindikiddwa mu masinzizo agenjawulo okweetaba mu kusabira Ssaabasajja n’Okweebaza Katonda olwebirungi byaakoledde Obuganda.

 

Ssebwaana akulembera essaza Busiro wakukiikirira Obwakabaka mu kanisa ya  Mukono Church of Uganda.

E Kiyinda Mityana waliyo omwami wa Ssaabasajja akulembera essaza Kyaddondo Kaggo Ahmed Magandaazi.

Owek Nakate Chotildah Kikomeko ali ku Lutikko e Kitovu mu Buddu.

Owek Christopher Bwanika ali ku Lutikko ya Kasana Luweero mu Bulemeezi.

 

Owek Sylvia Mazzi ali Lugazi n’Abakiise abalala bangi mu masinzizo agenjawulo.

Ku lunaku lwa Sabbiiti waabaddewo okusabira Ssaabasajja okwenjawulo mu Seventh Day Adventist Church okwetoloola Obuganda bwonna, nga e Kireka Omusumba wa district ye Kireka Daniel Ssennuuni yeyakulembeddemu entekateeka eno, neyeebaza Masomooji olw’Okwaagala ennyo abantube.

Mu bikujjuko bino abantu ba Kabaka ku mitendera egyenjawulo bakyagenda mu maaso n’Okulaajanira Omutonzi ayongere Kabaka obulamu Obulungi, ayongere okukulaakulanya Obwakabaka bwe.

Nnyininsi Musota Sseggwanga Ekiryosserulanda Ekimaamidde Obuganda yatikkirwa e Naggalabi Buddo nga 31 July,1993, kati gyemyaka 32 ng’alamula Obuganda.#

 

Share post:

Popular

Also Read

Mungu Feni Lands in Nigeria for UGX 300M Music Project with Top Producers

Award-winning Ugandan gospel artist Mungu Feni is set to...

Opposition uses Besigye’s 70th birthday to reset strategy for political change

Opposition leaders used the 70th birthday of veteran politician...

Tanqueray to Host High Fashion Cinema Night at Arena Mall Kampala This Friday

This Friday, Tanqueray is hosting an exclusive high-fashion cinema...

Christopher Okello Onyum Sentenced to Death for Murder of Four Children in Ggaba Daycare Attack

The prime suspect in the Ggaba Early Childhood Development...