Obwakabaka buvumiridde efujjo eryeyolekedde mu mpaka z’a Masaza ga Buganda 2025 – wakati wa Buvuma ne Bugerere – CBS FM

Date:

 

Obwakabaka bwa Buganda buvumiridde ebikolwa ebyefujjo ebyalabikira mu mupiira gw’empaka za Masaza ga Buganda ez’omupiira ogw’ebigere ez’omwaka guno 2025 , Buvuma bweyali ettunka ne Bugerere ku lwomukaaga nga 09 August,2025.

 

Owek Ssalongo Robert Sserwanga minister w’ebyemizannyo abavubuka n’ebitone,  agenze e Buvuma gyasisinkanidde abakulira ebyokwerinda, abatuuze nabakulembeze ku mutendera gyonna,  okuzuula ekyaviiraako obusiwuufu bw’empisa, obwaleka abawagizi bangi nga balumiziddwa.

 

Efujjo lino lyaliwo nga omupiira guno guwedde goolo 1-1, era abawagizi bamasaza gombiriri balwanira mu makubo,  bangi balumizibwa,  emmotoka zayononebwa n’ebirala.

 

Omwami wa Kabaka atwala essaza Buvuma,  Mbuubi Micheal Lubowa,  agambye nti bagenda kwongera okukolera ewamu n’abebyokwerinda okumalawo obusiiwuufu bw’empisa obw’engeri eyo.

 

Bisakiddwa: Isah Kimbugwe

 

 

Share post:

Popular

Also Read

Jowy Landa Opens Up About Abuse and Manipulation by Ex-Manager Francis

Singer Jowy Landa has opened up about her former...

Bebe Cool Denies Feud With Joshua Baraka, Apologizes Over Omulangira Ndausi Claims

Singer Bebe Cool has openly denounced Omulangira Ndausi’s statements...

Behind the Love Songs: Pallaso Says Mowzey Radio Was Uganda’s Biggest Gangster

Singer Pallaso has branded the late Mowzey Radio as...

Col. Edith Nakalema Alleges Stellah Nantumbwe Left Marriage with Husband’s Property

Senior Presidential Advisor and Head of the State House...