Kooti enkulu eyimirizza bonna abeesenza ku ttaka lya Kabaka erye Kaazi Busaabala n’ekigendererwa eky’okulyezza – CBS FM

Date:

Kooti enkulu eyimirizza bonna ababadde besomye okutwala  ettaka lya Ssaabasajja Kabaka erisangibwa e Kaazi mu Busiro, nga bagendera ku biragiro bya  minister omubeezi owÉttaka nÁmayumba mu government eya wakati Sam Mayanja

Ettaka lino erya Kabaka liri  mu square Mile 350 erya Ssaabasajja Kabaka.

Lisangibwa ku Block 273 plot 5 nga liweza obugazi bwa yiika 120.

Ettaka lino libadde limanyiddwa nnyo nga eryÁbasikawutu, kuba ssekabaka Daudi Chwa yali yabawaako Liizi.

Wabula libadde lyesenzaako abantu abenjawulo abaawakanya obwa nnanyini bwalyo, naye kati  kooti yalamudde nti lya Beene.

Ettaka lino waliwo bannakigwaanyizi abaalikubako ebyaapa ebicupule, ekyawaliriza bannamateeka bÓbwakabaka ne Kabaka omwali K&K Advocates, S&L Advocates , Buganda Royal Law chambers ne bannamateeka mu Buganda Land Board okuddukira mu kooti era nebiyimirizibwa, nga bino byaliwomu 2024.

Nga 18 July, 2025, Omulamuzi mu kooti enkulu Bonny Isaac Teko awadde ensala eyimiriza bannakigwaanyizi ababadde batandise okusenda ettaka lya Beene nekigendererwa eky’okulibba.

Mu nsisinkano ne Bannamawulire mu Bulange e Mengo,minister wÉttaka nÉbizimbe Owek David Fredrick Kisitu Mpanga agambye nti Obwakabaka busanyukidde ekya kooti okuwa ensala mu bbanga ettono,eyimiriza abantu ababadde bagenda mu maaso n’okubaako byebakolerako.

Owek. Mpanga alabudde  nti ssinga amateeka tegakola kimala kulemesa bannakigwaanyizi kika kino, Ettaka lyÁbantu lingi lyakubbibwa.

 

Omulamuzi mu nsalaye eyÉmiko 19 alagidde waleme kubaawo muntu yenna akolera ku biragiro bya minister Sam Mayanja okubaako kyakolerako, okutuusa nga Omusango ogwawaabwa gusaliddwa.

Bisakiddwa: Kato Denis

Share post:

Popular

Also Read

Police Roll Out Security and Traffic Plan for MP Nominations in Kampala

Kampala Metropolitan Police have announced a series of security...

Museveni Pledges to Recruit 1,400 Health Inspectors to Curb Drug Theft

The National Resistance Movement (NRM) Presidential Candidate, General Yoweri...

Jose Chameleone: I Love Bobi Wine as a Brother, But I Belong to NRM

Musician Jose Chameleone has confessed that he doesn’t wish...

Alien Skin Battles for Fangone Forest Name as Businessman Claims Trademark Rights

Musician Alien Skin found himself in a legal battle...