FDC ekungubagidde omugenzi  Baguma Jolly Patrick Ateenyi afiiridde mu kabenje e Busega ku Northern bypass – CBS FM

Date:

Ekibiina ky’ebyobufuzi ki  Forum for Democratic Change FDC kitenderezza eyaliko omumyuka wa ssentebe w’ekibiina mu Bugwanjuba bwa Uganda omugenzi  Baguma Jolly Patrick Ateenyi, nti yakola  kinene nnyo okulwanirira obw’enkanya n’enkyuukakyuuka egasa bannansi nti naye kyannaku nti afudde talabye ku nsi nsuubize.

Omugenzi Baguma Patrick Ateenyi afiiridde mu kabenje mu kiro ekikeesezza olwa Saturday  nga 19 July,2025 ku luguudo lwa Northern By pass  e Busega mu Kampala.

Amyuuka omwogezi wa FDC  mu ggwanga Mulindwa Warid Lubega agambye nti oludda oluvuganya government lufiiriddwa nnyo munnankyuuka ate ayagala ensi, era nti yakola kinene nnyo okubagattako bannankyuukakyuuka abalala naddala okuva mu bitundu by’e Bunyoro.

Omugenzi wakuziikibwa  mu district ye Hoima ku bbaraza nga 21 July, 2025 ku kyalo Katasiha.

Share post:

Popular

Also Read

Mungu Feni Lands in Nigeria for UGX 300M Music Project with Top Producers

Award-winning Ugandan gospel artist Mungu Feni is set to...

Opposition uses Besigye’s 70th birthday to reset strategy for political change

Opposition leaders used the 70th birthday of veteran politician...

Tanqueray to Host High Fashion Cinema Night at Arena Mall Kampala This Friday

This Friday, Tanqueray is hosting an exclusive high-fashion cinema...

Christopher Okello Onyum Sentenced to Death for Murder of Four Children in Ggaba Daycare Attack

The prime suspect in the Ggaba Early Childhood Development...