Ssaabasajja Kabaka akubagizza ab’enju y’omugenzi Omulamuzi Prof. George Kanyeihamba. – CBS FM

Date:

Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II aweerezza obubaka obusaasira ab’enju y’omugenzi  era abadde munywanyiwe, Omulamuzi Prof. George Wilson Kanyeihamba.

Obubaka bwa Ssaabasajja bwetikiddwa Omulangira Rev Daniel Kajumba,  era ng’abukwasizza mulekwa Joel Martin Kanyeihamba.

Joel Martin Kanyeihamba

Ebimu ku biri mu Bubaka, Beene agambye nti Omugenzi abadde mulwanirizi wa Ddembe ly’abantu Kayiingo, omukulembeze ate omuwabuzi ku nsonga ezenjawulo.

Maasomooji yeebazizza Omugenzi Kanyeihamba olw’obumalirivu bwabadde nabwo ku nkulaakulana y’Eggwanga, agunjudde bannamateeka nkuyanja, ate ng’abadde ayagala nnyo Obwenkanya n’Amazima.

Nnyininsi awabudde abakulembeze abakyaali abato okuyigira kubikoleddwa Prof Kanyeihamba.

Oggwoto gukumiddwa  mu makaage agasaangibwa e Buziga mu gombolola ye Makindye mu Kampala.

Share post:

Popular

Also Read

Vibe House Officially Opens in Kampala, Redefining Lifestyle and Entertainment Experiences

Kampala’s entertainment and lifestyle scene has welcomed a bold...

Spice Diana Confiscates Event Equipment Over Unpaid Performance Balance

Singer Spice Diana, real name Namukwaya Hajara Diana, last...

The Alchemist’s Gavel: Industrialisation, value addition, and Uganda’s economic awakening

By Asiimwe Jonard “The person who eats the grain before...

Vibe House debuts in Kampala – Xclusive News

Kampala’s ever-evolving social scene has a new heartbeat, and...