Captain wa ttiimu y’eggwanga ey’omupiira ogw’ebigere eya Uganda Cranes, Khalid Aucho, mu butongole alangiridde nti ayabulidde club ya Yanga Africans egucangira mu liigi ya babinywera eya Tanzania,oluvanyuma lw’ebbanga lya myaka 4 nga abacangira endiba.
Khalid Aucho obubaka bw’okwabulira club ya Yanga Africans abuyisizza ku mikutu gye emigatta bantu, mweyabaliza club ya Yanga Africans okumuwa omukisa okubazannyira, era bingi byatuseeko mu kiseera ky’amaze mu ttiimu eno.
Aucho ebbanga ly’amaze mu club ya Yanga Africans, awangulidde club eno ebikopo kya liigi 4 eby’omuddiringanwa, ate nga ne mu 2023 yabatuusa ku final y’empaka za Africa eza CAF Confederations Cup.
Wabula mu kiseera kino Khalid Aucho tanalangirira ttiimu gy’agenda kuddako kuzannyira.
Mu Uganda Khalid Aucho yazannyirako club ya Jinja Municipal Council, Water FC ne Simba FC.
Yazannyirako club za Kenya Tusker ne Gor Mahia, yazannyirako Baroka eya South Africa, Red Stars Belgrade eya Serbia, E Makkasa eya Misiri n’endala.
Bisakiddwa: Isah Kimbugwe