Government ereeta tteeka ku bakola mu bank – – CBS FM

Date:

Government eteekateeka kuleeta tteeka erinaluηamya abakozi ba bank z’ebyobusuubuzi n’ekigendererwa eryookutereeza omulimu guno okuguggyamu abekobaana n’abafere.

Mu tteeka eriteekebwateekebwa abakozi mu bank ez’enjawulo bakusooka okufuna ebbaluwa ezibakakasa mu mulimu guno, okuva mu kitongole ekya Uganda Institute of Banking and Financial services (UIBFS), nga bweguli ku bannamateeka okuva mu kitongole ekya Uganda law society, naabasawo okuva mu kakiiko aka Uganda Dental and practitioners’ council.

Etteeka eriteekebwateekebwa likulembeddwamu ekitongole ekivunaanyizibwa ku kusomesa n’okuluηamya empereza y’emirimu gy’abakozi mu bank ekya Uganda Institute of Banking and Financial services, (UIBFS).

Enkola eno yakuyambibwako  bank ya Uganda enkulu, nti okuyambako okutereeza enkwata y’ebyensimbi, n’abakozi mu bitongole eby’enjawulo ebikola mu kugaba n’okutereka ensimbi z’abantu.

Ku matikkira g’ettendekero lya Uganda Institute of Banking and Financial services, agoomulundi ogwe 12, ogubadde ku Mistil Hotel e Nsambya, ssenkulu wa bank ya Uganda enkulu, Michael Atingi-Ego, obubaka bwe abutisse akola nga Executive Director mu bank ya Uganda, Richard Byarugaba, naasuubiza nti nga bank ya Uganda enkulu, baakuwagira nnyo etteeka lino.

Ettendekero lino era lirangiriridde enteekateeka y’okweyubula naakabonero akapya.

Mungeri yeemu asabye abayizi abatikiddwa okujjumbira okukozesa tekinologiya okulondoola emirimu gyabwe, okugabana amageI.

Mary Gorretti Masadde nga ye ssenkulu w’ettendekero agambye nti abayizi ebitundu 60% abatikiddwa bakyala, nga kino kigenda kiyambako nnyo okwongera abakyala mu bifo ebisalawo mu bank ez’enjawulo nokubasembeza ku nkiiko eziddukanya emirimu mu bitongole gyebakolera.

Share post:

Popular

Also Read

Ugandan Parliament Honors Late Kenyan Political Giant Raila Odinga

KAMPALA, Uganda (AP) — Ugandan lawmakers paid tribute Monday...

Ugandan Legislators Renew Calls to Address Teachers’ Pay Disparities

KAMPALA — Ugandan lawmakers are urging the government...

Museveni Urges Patience on Public Pay Raises, Citing Infrastructure as Priority

ADJUMANI – President Yoweri Museveni reaffirmed his government’s commitment...

Museveni Pledges Renewed Cattle Restocking Program for Uganda’s Acholi Region

PABBO — President Yoweri Museveni has reaffirmed his government’s...