Abaaniriza abagenyi mu Buganda babanguddwa ku ngeri y’okwongera obukugu mu mulimu gwabwe nga bettanira enkola za technology – CBS FM

Date:

 

Abavunaanyizibwa ku kwaniriza abagenyi mu Bwakabaka bwa Buganda baweereddwa amagezi babeere basaale mu kukuuma ekitiibwa kyÓbwakabaka, nga bakola emirimu gyabwe mu ngeri ey’ekikugu.

Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga abadde abasisinkanye ku kitebe kyÉkitongole kyÉbyobulambuzi ku Butikkiro,gyebabaanguliddwa ku ngeri y’okulinnyisa omutindo gw’omulimu gwabwe.

Abalabudde nti enneeyisa yÁbatuuza etawa bebatuuza kitiibwa emalamu amaanyi, naasaba abatuuza mu Bwakabaka okubeera ekyokulabirako.

 

Katikkiro asabye abatuuza okukuuma ebiseera nÓkubeera abayiiya ennyo mu byebakola, era naabasaba okukozesa tekinologiya okufuna obukugu obupya , olwo byebakola bibe byamutindo.

Abakuutidde okumanya ebyafaayo n’ebikwata ku bagenyi ababeera bakyadde,  ebitiibwa bye, obuweereza bwabwe, n’amannya ge amatuufu, olwo nno balyoke bafuuke abamanyi era abasobola okusalawo eby’ensonga.

 

Wabula abasabye okukuuma obuyonjo okusobola okuggyayo ekifaananyi ky’obwakabaka ekituufu.

 

Minister wÓlukiiko, Cabinet nénsonga zÉnkizo mu yafeesi ya Katikkiro Owek Noah Kiyimba, yebazizza abatuuza olwÓkufuba okumanya enzirukanya yÉmirimu nÓkutereeza ekifaananyi kyabwe mu bantu bÓmutanda.

 

Bisakiddwa: Kato Denis

Share post:

Popular

Also Read

Gen. Muhoozi Backs Tumukunde’s 2026 MP Bid, Orders NRM Support in Rukungiri

The Chief of Defence Forces (CDF), General Muhoozi Kainerugaba,...

Over 200 Attend Women-Focused Empowerment Event in Mbarara – Xclusive UG.

In a significant move to champion female employment and...

MamiDeb loses her iPhone 16 Pro Max to Thugs

Businesswoman and reality TV star MamiDeb was left disappointed...

DP’s Maria Nassali urges gov’t to expand access to clean water

Maria Nassali Masereka, a Democratic Party aspirant for Wakiso...
Verified by MonsterInsights