Nga club za liigi ya babinywera zetegekera Uganda Premier League season ejja eya 2025/26, club ya URA mu butongole erangiridde nga bwekaansizza omuteebi Nelson Ssenkatuuka.
Nelson Ssenkatuuka bamuwadde endagaano ya myaka 2, era avudde mu club ya Bright Stars.
Wadde club ya Bright Stars yasaliddwako okuddayo mu kibinja kya wansi ekya FUFA Big League, naye season ewedde Nelson Ssenkatuuka yagiteebera goolo 5.
Ssenkatuuka yazannyirako club ya KCCA, ng’ajjukirwa n’okugiyambako okuwangula liigi ya 2016.
Mu URA gy’agenze asuubirwa okuziba eddibu lya Ivan Ahimbisibwe eyagenze mu KCCA ne Bruno Bunyaga eyagenda mu America.
Bisakiddwa: Isah Kimbugwe