Ttiimu y’eggwanga ey’omupiira ogw’ebigere eya Uganda Cranes eyongedde okutangaaza emikisa gyayo egy’okuva mu kibinja mu mpaka za CHAN 2024, oluvanyuma lw’okumegga Niger ku goolo 2-0.
Omupiira gibadde mu kisaawe kye Namboole ekibadde kikubyeko obugule.
Ggoolo eziwadde Uganda Cranes obuwanguzi zitebeddwa Allan Okello ne Joel Sserunjogi.
Uganda Cranes kati ekulembedde ekibinja C n’obubonero 06 okuva mu mipiira 3, Algeria yakubiri n’obubonero 4 okuva mu mipiira 2, South Africa yakusatu n’obubonero 4 okuva mu mipiira 2, Guinea yakuna n’obubonero 3 okuva mu mipiira 3, ate nga Niger yesembye terinayo kabonero.
Omupiira omulala mu kibinja kino South Africa yakubye Guinea goolo 2-1.
Empaka zino zigenda kuddamu okuzanyibwa enkya nga 12 August,2025 n’emipiira 2, nga Senegal egenda kuttunka ne Congo Brazzaville ate nga Sudan egenda kuzannya ne Nigeria mu kibuga Zanzibar.
Bisakiddwa: Isah Kimbugwe