Ttiimu ya Uganda ey’omupiira ogw’ebigere eya Uganda Cranes ewanduse mu mpaka za CHAN bwekubiddwa Senegal goolo 1-0 mu kisaawe e Namboole.
Omupiira guno gubadde gwa mutendera ogwa quaterfinal, era Uganda Cranes ewandukidde mu maanyi oluvanyuma lw’okulemererwa okuteeba emikisa enkumu gyefunye.
Mu kiseera kino Sudan ettunka ne Algeria, era ayita wano yagenda okuzannya ne Madagascar ku semifinal ate nga Morocco egenda kuzannya ne Senegal. #