Ttiimu y’eggwanga ey’omupiira ogw’ebigere eya Uganda Cranes eraze eryaanyi mu mpaka za Africa Nations Championships CHAN, bw’ekubye Guinea goolo 3-0.
Omupiira guno guzannyidwa mu kisaawe e Namboole mu kisaawe ekibadde kikubyeko obugule.
Goolo eziwadde Uganda obuwanguzi ziteebeddwa Reagan Mpande, Allan Okello ne Ivan Ahimbisibwe.
Uganda Cranes yakazannya emipiira 2 mu mpaka zino, nga yasooka kukubwa Algeria goolo 3-0.
Guinea omupiira guno egwefuze ebitundu 59%, Uganda Cranes egwefuze ebitundu 41%.
Uganda Cranes ekubye ebizungirizi 12 ku goolo ate Guinea ebizungirizi 6.
Uganda Cranes erina obubonero 3, Algeria yekulembedde ekibinja kino C n’obubonero 3, Guinea nayo erina obubonero 3, South Africa akabonero 1 ate Niger terinaayo kabonero konna.
Uganda Cranes egenda kuddamu okuzannya ku monday nga 11 August,2025 ng’esamba Guinea.
President Museveni yasuubiza Uganda Cranes akawumbi ka shs kalamba n’obukadde 200, ku buli mupiira gwebawangula. #
Bisakiddwa: Isah Kimbugwe