Omupiira guno guzanyiddwa mu kisaawe kya Karatu Stadium mu kibuga Arusha e Tanzania.
Goolo ewadde Tanzania obuwanguzi eteebeddwa Idd Nado mu kitindu ekisooka.
Abamu ku bazannyi abazanyidde Uganda Cranes olwaleero ye Allan Okello, Yusus Ssentamu, Jonah Kakande, Jude Ssemugabi, Joel Mutakubwa, Nicholas Mwere, Abdul Karim Watambala n’abalala.
Uganda Cranes ejja kukomawo mu kisaawe ku Thursday nga 24 July, okuzannya ne Senegal era mu mpaka zino ez’okwegezaamu.
Empaka za CHAN zigenda kutegekebwa Uganda, Kenya ne Tanzania okuva nga 02 okutuuka nga 30 omwezi ogujja ogw’omunaana.
Mu kwetegekera empaka zino ez’okwegezamu, Uganda Cranes yagenze ne ttiimu yabazannyi 26 e Tanzania.
Empaka za CHAN zetabwamu abazannyi abazannyira mu liigi z’ewaka, era Uganda Cranes eri mu kibinja C ne Algeria, Guinea, Niger ne South Africa.
Senegal bebalina ekikopo.
Bisakiddwa: Isah Kimbugwe