Boodi empya eya kampuni yÉnnyonyi yéggwanga eya Uganda Airlines etongozeddwa, neerabulwa obutagezaako kuggulawo ngendo ndala, kuba tewali nsimbi zigenda kuziddukanya.
Bdoodi ya Uganda Airlines ekulirwa Priscilla Mirembe Serukka nga ssentebe
Abalala kuliko Barbara Namugambe, Patrick Ocailap, Abdi Karim Moding, Mr. Constant Othieno Mayende, Herbert Kamuntu ne Prof. Samson Rwahwire.
Bwabadde atongoza Boodi eno eweeredswa ekisanja ekirala eky’emyaka 3, minister omubeezi owÉbyentambula Fred Byabakama, agambye nti okunyweeza Eηηendo eziriwo nga ziweebwa ebyetaago ebimala kyekigenda okusobozesa kampuni eno okukola amagoba agegasa.
Minister Byabakama asabye bboodi okukolera emirimu gyayo mu bwerufu, okuwagira abakozi mu nzirukanya yÉmirimu , mungeri eyenjawulo nÁcoomera ababaka ba parliament ku ludda oluwabula government abatanudde okuvumaganya Ennyonyi zÉggwanga.
Ssentebe wa boodi ya Uganda Airlines Priscilla Mirembe Serukka ayongezeddwa ekisanja ekirala kya myaka 3 nga ssentebe wa Boodi.
Ssentebe agambye nti ennyingiza yÉnnyonyi eyongedde okulinnya, wadde wakyaliwo okusoomozebwa mu nzirukanya y’Emirimu.
Akulira kampuni ya Uganda Airlines Jennifer Bamuturaki ategeezezza nti wakyaaliwo Obwetaavu bwÓkwongera ku bungi bwÉnnyonyi za Uganda, kibasobozese okugaziya ku nnyingiza y’ensimbi.#

