Ebya Buddu okuva mu kibinja byongedde okusannyalala – Busiro egikubye 1 – 0 – CBS FM

Date:

 

Ebya ttiimu y’essaza Buddu okuva mu kibinja mu mpaka za Masaza ga Buganda ez’omupiira omwaka guno 2025, byongedde okusanyalala bwekubiddwa Busiro goolo 1-0 mu kisaawe kya Kitovu Arena e Masaka. 

 

Buddu kati esigaza emipiira 2 okumalako ekibinja,  kyokka yetaaga okuwangula gyonna okutangaza emikisa egy’okuva mu kibinja. 

 

Mu kibinja kye kimu Busujju egudde maliri ne Buluuli e Kakindu 0-0.

Buluuli ekikulembedde n’obubonero 15, Busujju yakubiri n’obubonero 15.

Ssese yakusatu n’obubonero 12, Buddu ya 4 n’obubonero 09, Busiro ya 5 n’obubonero 08 ate nga Gomba esembye n’obubonero 6.

 

Kyadondo ekubye Buvuma goolo 5-0 e Nakivubo,  Bugerere ekubye Buweekula goolo 2-1 e Ntenjeru, ate Mawokota ekubye Bulemeezi goolo 1-0 e Buwama. 

 

Ssingo egudde maliri ne Butambala goolo 1-1 e Mityana,  wabula omupiira guno teguwedde olwa Butambala okuwakanya ennamula ya ddifiri, nga balumiriza nti Ssingo eteebye goolo ey’ekyenkanyi nga mu kisaawe mulimu emipiira 3.

 

Kyaggwe ekubye Mawogola goolo 1-0 mu kisaawe e Mukono.

 

Bisakiddwa: Isah Kimbugwe

Share post:

Popular

Also Read

Parliament Passes Bill to Professionalize Teaching Sector

KAMPALA, Uganda — Parliament passed the National Teachers Bill,...

Deputy Speaker Tayebwa Reassures Diplomats On Sovereignty Bill Consultations

KAMPALA, Uganda — Deputy Speaker of Parliament Thomas Tayebwa...

State House Unit Launches Global Webinar Series To Boost Diaspora Engagement

KAMPALA, Uganda — Remittance inflows from Uganda’s diaspora reached...