Ssaabasajja Kabaka atenderezza obuweereza bw’abadde musajja we omugenzi Owek Tofiri Kivumbi Malokweza obubaddemu ebitone ebingi ebisuubirwa mu bakulembeze.
Obubaka bwa Kabaka busomeddwa Katikkiro Charles Peter Mayiga mu kuziika omugenzi Malokweza e Ngondati Lwengo mu Buddu.
Omutanda ayogedde bwati ku mugenzi Tofiri Kivumbi Malokweza.
“Twafunye amawulire agokufwa okwa mukwano gwaffe eyali Ow’essaza Kaggo Tofiri Kivumbi Malokweza. Kitalo nnyo.
Obwakabaka bufiiriddwa ow’essaza eyali ow’amaanyi, tusaasira nnyo Namwandu, ba mulekwa, abooluganda n’abemikwano olw’okufiirwa mukadde wammwe.
Mu ngeri y’emu tukubagiza omutaka kisoro olw’okuviibwako empagi luwaga mu Kika.
Mu ngeri ey’enjawulo tusaasira ekelezia katulika olw’okufa kw’omukirisitu abadde omugundiivu era abadde omusirkale wa Paapa.
Twegatta n’abantu baffe bonna okukungubagira omuntu eyakola emirimu egy’etttendo mu Ssaza lyaffe ery’e Kyaddondo.
Tujjukira bulungi obuweereza bw’omugenzi obubaddemu ebitone ebingi ebisuubirwa mu bakulembeze nga mwe muli obwetowaze, obukozi n’obuwulize eri Namulondo.
Yakola omusingi omulungi abaami ba Kabaka kwebatambulizza emirimo.
Mu buweereza bwe tutambudde naye olugendo luwanvu, yetabanga mu mikolo mingi emitongole wamu n’enteekateeka zonna ezikulaakulanya abantu baffe, alaze eky’okulabirako ekirungi eri e ggwanga, tumusaaliddwa.
Twebaza Katonda olw’obulamu bwe wamu n’emirimo emirungi gyonna gyamukozesezza mu Nsi, tusaba mukama Katonda abagumye mu buyinike n’omugenzi amuwe ekiwummulo eky’omulembe”.
Katikkiro ku lulwe ayogedde ku mugenzi ng’eyaweereza Kabaka we obuteebalira.
“Owek. Malookweza aweerezza bulungi Kabaka we n’atuuka n’okumusiima n’amuwa ejjinja ery’omuwendo, ffenna tusaanye okumuyigirako okukola ennyo ate n’obwagazi mu byonna bye tukola”.
Okusaba kw’okuziika Owek.Ttofiri Kivumbi Malookweza kukulembeddwamu omusumba w’e Masaka Bishop Sirverus Jjumba.
Abantu bangi ddala beeyiye e Ngondati okuwerekera Omugenzi Ttofiri Kivumbi Malookweza.#