Omukulembeze w’eggwanga era ssentebe wa NRM Yoweri Kaguta Museveni ayimirizza akalulu k’abavubuka mu NRM okubadde e Kololo, olwemivuyo egisusse, era akalulu kano kigambibwa nti akagobyemu akulira ebyokulonda mu kibiina kino Dr. Tanga Odoi.
Akalulu kano Museveni w’akayimiririzza nga baakalondako ekifo kimu ekya ssentebe w’abavubuka, era nga kubadde kukubirizibwa ssentebe w’akakiiko kano Dr. Tanga Odoi.
Olwokaano luno lubaddemu abavubuka abawerako omuli ne mutabani w’abadde akubiriza okulonda kuno Tanga Odoi ng’omutabani ye Tanga Collin.
Embiranye ku kifo kino ebadde wakati wa Kiconco Brenda ne Tanga Collin.
Akulira ebyokulonda Dr. Tanga Odoi ku ssaawa 12 ez’okumakya alangiridde mutabani we ku buwanguzi.
Okusinziira ku byalangiridde, Tanga Collin afunye obululu 1557 ate Kiconco bwebabadde ku mbiranye afunye obululu 1355.
Olumaze okulangirira bino Tanga Odoi ategeezezza nti okulonda ebifo ebirala kuyimiriziddwa, kyokka abawagizi ba Kiconco Brenda basigadde bakukkuluma wakati mu kutegeeza nti omuntu waabwe y’awangudde akalulu kyokka nti Tanga Odoi n’alangiriramu mutabani we.
Oluvannyuma kitegeerekese nti president Museveni ayogeddeko eri abavubuka ng’ayita ku mutimbagano, naalagira okulonda kuno kwonna kusazibwemu, era naalagira akakiiko akassibwawo okunoonyereza ku mivuyo gy’okulonda mu kibiina, kanoonyereze ku kalulu k’abavubuka.
President Museveni alagidde buli muvubuka ali e Kololo bamuweeyo akasiimo akalala ka mitwalo 50, olw’obudde bwebamazeeyo.#