President wa Uganda Gen. Yoweri Kaguta Museveni Tibuhaburwa akomerezza enteekateeka ya Parish Development Model PDM mu Kampala, mwamaze ennaku 5 ng’atalaaga eggombolola zonna 5 eziri mu Kibuga Kampala.
President Museveni agambye nti mu kulambula kuno akizudde nti PDM yandibadde etambula bulungi naye wakyaliwo ebirumira ebitonotono, omuli obutali bulambulukufu mu kugaba ssente zino, wamu n’abakozi ba government abataagala ku kolagana na bannamawuliire okubunyisa enjiri eno.
President Museveni atuuse n`okuteeka ku nninga ba minister bamunyonnyole ensonga ebalobera okukolagana ne bannamawulire, Minister omubeezi owa Mawulire n`okuluηamya eggwanga Owek Joyce Juliet Nabbosa Ssebuggwawo, mukwanukula ategeezezza nti waliwo bannamawulire abakoze ekiwera okutuusa enkola za government mu bantu, nti wabula olw’obwavu bannamawulre abamu bava ku mulamwa nebakolera ababagulirira okumetta enziro enteeka za government.
Wano President Museveni wasinzidde nategeeza nti singa abamawulire beteekateeka bulungi agenda kuwagira enteekateeka zabwe ez’enkulakulana.
Ku nsonga yabantu abaffa nga tebanazaayo ssente za PDM, president Museveni agambye nti bagenda kugyekenneenya balabe oba ng’abasika baabwe basobola okusasula ssente ezo.
President agabye nti mu kulambula Kampala akizudde nti abantu abali mu Kibuga bangi nnyo bwogerageranya n`omutemwa gwe’nsimbi ogubaweebwa ogw`obukadde ekikumi buli Muluka, era bwatyo nasubiiza ensimbi zino okuzongerako.
Mu mbeera yeemu president Museveni alangiridde nokwongera ku bungi bwa ssente zaawa abavubuka ba Ghetto okwekulakulanya, nga buli gombolola eri mu Kampala nti agenda kujiwa akawumbi ka shs kalamba ziwolebwe abavuka abali mu Ghetto.
President bwebamubuulidde ku nsonga y’emisolo egiri waggulu ennyo egigobye abasuubuzi mu business, agambye nti kino sikituufu era alagidde state House ne ministry y’ebyensimbi okufulumya olukalala lw’ebintu ebiteekeddwa okuwa omusolo mu ggwanga n’omutemwa gwabyo buli muntu abimanye.
Bisakiddwa; Musisi John