Gomba ekyali bubi mu mpaka z’amasaza 2025 – buli ssaza liwezezza emipiira 4 egyakasambibwa – CBS FM

Date:

Ttiimu y’essaza Gomba ewezezza emipiira 4 ng’obuwanguzi bukyagyesaambye, mu mpaka za Masaza ga Buganda ez’omupiira ogw’ebigere 2025 ,  bwegudde amaliri ga 0-0 ne Buluuli mu kisaawe e Kabulasoke.

Wabula mu mupiira guno Gomba efunye peneti naye n’egaana okunywa.

Gomba kati efunye akabonero akasoose mu mipiira 4 gyeyakazannya mu mpaka ez’omwaka guno, ng’emipiira  emipiira gyonna 3 egyasooka yakubwa.

Ssingo nayo efunye obuwanguzi obusoose bwekubye Kkooki goolo 3-0 e Mityana.

Kyaggwe egudde maliri ne Butambala goolo 1-1 e Mukono,  kyokka omupiira guno nga guwedde abawagizi ba Kyaggwe basiwuuse empisa nebatuuka n’okugwa baddifiri mu malaka.

Bugerere nayo ekubye Mawokota goolo 1-0 e Ntenjeru,  Buddu egudde maliri ne Busujju e Masaka,  ate nga ne Bulemeezi efunye obuwanguzi obusoose bwekubye Buvuma goolo 1-0 e Kasana Luweero.

webutuukidde leero nga 20 July,2025, buli ssaza lya kazannya emipiira 4 mu kibinja.

Bisakiddwa: Isah Kimbugwe

Share post:

Popular

Also Read

Vibe House Officially Opens in Kampala, Redefining Lifestyle and Entertainment Experiences

Kampala’s entertainment and lifestyle scene has welcomed a bold...

Spice Diana Confiscates Event Equipment Over Unpaid Performance Balance

Singer Spice Diana, real name Namukwaya Hajara Diana, last...

The Alchemist’s Gavel: Industrialisation, value addition, and Uganda’s economic awakening

By Asiimwe Jonard “The person who eats the grain before...

Vibe House debuts in Kampala – Xclusive News

Kampala’s ever-evolving social scene has a new heartbeat, and...