Akubiddwa amasasi kigambibwa nti abadde agenda kulumba omusajja ategerekeseko erya Davis ku semadduka wa Ecomart, asangibwa e Kiwaatule mu Kampala.
Police egamba nti attiddwa abadde n’abalalala babiri nga balina amajjambiya, era police mukugezaako okubakwata bagezezaako okwagala okuteema abasirikale omu kwekukubwa essasi nafiirawo.
Attiddwa police tenafulumya mannya ge, wabula abatuuze mu kitundu wattiddwa balumiriza nti abadde mubbi walulango.
Amyuka omwogezi wa police mu Kampala n’emiriraano Luke Owesigire agambye nti okunoonya ababbi abalala abagambibwa nti babadde mubulumbaganyi buno kugenda mu maaso.
Ebyo nga bikyali awo police era ekoze ekikwekweto kye kimu mu bitundu bya Nakawa,Rufura,Wampewo ne Mukono era gyebigweredde nga abantu 9 bakwatiddwa.
Ekiweekweeto kino kikoleddwa oluvanyuma lwa batuuze mu bitundu bino okwemulugunya nga obubbi bwa namba za motoka bwebususse mu kalippagano k’ebidduka ku nguudo n’awaka.
Abakwatiddwa kuliiko Makana Dan,Kajubi Stephen, Owundo Stephen, Asiimwe Ibra, Kageni Isaac, Baba, Nabalala
Luke Owesigire agambye nti ebikwekweto byakugenda mu maaso okumalirawo ddala obumenyi bwa mateeka buno.#