Police erangiridde enguudo ezigenda okukosebwa ng’emipiira gya CHAN 2025 gizannyibwa – CBS FM

Date:

Police y’e biddduka erangiridde nti wagenda kubaawo okutataaganyizibwa mu ntambula y’ebidduka ku nguudo ezenjawulo naddala ezeetoolodde ebisaawe ewagenda okuzannyibwa empaka z’omupiira eza African Nations Championship  (CHAN) ezigenda okuzanyibwa  mu Uganda .

Empaka zino zitegekeddwa Uganda, Kenya ne Tanzania, zitandika nga 02  okutuuka nga 29 August,2025.

Enguudo ezisuubirwa okukosebwa kwekuli ezigenda ku kisaawe e Wankulukuku, Kisu Bukoto, FUFA stadium, ekimanyiddwa nga Kadiba ne Kyambongo University ground, abazannyi abava mu mawanga ga Africa agenjawulo gyebagenda okutendekebwa.

Enguudo endala ezigenda okukosebwa kuliko Yusuf Lule, Mulago, Ku bbiri ne Kalerwe abazannyi gyebanaayita nga bagenda okutendekebwa.

Mu enteekateeka enddala abazanyi bano bakusula mu hotel okuli Serena, Skyz e Naguru, Speke Resort Munyonyo ,Mestil hotel e Nsambya,ne Fufa hotel esangibwa e Kisaasi, nayo ebyetambula byakutataganamu, okusobozesa abazannyi okutambula obulungi.

Mu mbeera enno police esabye abantu okukozesa amakuubo amalala a okutuuka ku mirimu gyabwe, omuli  abe Naalya okukozesa Kyaliwajjala , Sonde, abe Seeta okuyita e Sonde okutuuka e Namugongo n’endala.

Omwogezi wa police y’ebidduka mu ggwanga Micheal Kananura asinzidde ku police e Nagguru nasaba bannauganda bonna okugondera enteekateeka ezitereddwawo okwewala okufuna obuzibu nabakuuma ddembe.#

Share post:

Popular

Also Read

Prof. George Wilson Kanyeihamba aziikiddwa mu maka ge e Buziga – bamukubidde emiziinga 6 – CBS FM

Eyali omulamuzi wa kooti ensukkulumu, omusomesa w’amateeka, era omuwandiisi...

Murari Decries Election Irregularities, Pledges Peaceful Path Forward – Xclusive UG.

Mbarara City – Aspiring politician Seth Murari has addressed...

Kanungu Leaders And Stakeholders Sound Alarm Over Crumbling Roads Threatening Tourism and Trade – Xclusive UG.

KANUNGU-Local leaders and residents in Kanungu District have issued...
Verified by MonsterInsights