Negyebuli eno police ekyakonkomadde n’obukadde bwa shilling 50 bweyateekawo, eri omuntu yenna anaagiwa amawulire ku muntu eyakwatibwa mu katambi ka camera, ateeberezebwa nti yeyatta abafumbo omukyala n’omwami David Mutaaga, ku kyalo Lugonjo Entebbe.
Police yateekawo obukadde bw’ensimbi za Uganda 50 buweebwe omuntu asobola okubatusaako amawulire agakwata ku ateeberezebwa okubatemula, wabula nookutuusa kati tewali muntu yenna yaagitukiridde.
Omwogezi wa police mu ggwanga Rusooke Kituuma asinzidde mu lukuηaana lwa bannamawulire ku Kitebe Kya police e Naguru, nategeza nti obuukumi balina obumala eri omuntu yenna anavaayo nabatuusa ku mutemu, era tewali webagenda mukwogerako ku mikutu gyabyapuliziganya wadde okumulalasa ku mitimbagano.
Rusooke agambye nti ne namba ye ssimu eyatekebwawo namba 0769675918 ekyaliko eri abalina kyebamanyi kyonna ku ttemu lino, nti baddembe okugikozesa okutuusa obubaka eri police esobole okwata mutemu.