Police mu Kampala n’emiriraano ekutte era neggalira Sandra Tera, muganzi w’omuyimbi Douglas Mayanja amanyiddwa nga Weasle Manizo.
Kigambibwa nti abagalana bano babadde mu bbaala Shans Bar e Munyonyo ne bafuna obutakkaanya, Sandra Tera mu bugenderevu kwekuvuga emmotoka No. UBH 148Y naatomera bba Douglas Mayanja naamumenya okugulu.
Amyuka omwogezi wa police mu Kampala n’e miriraano Luke Owesigire agambye nti batandise okunoonyereza okumanyira ddala kiki ekyatabudde abagalana bano okutuka omu okwagala nokumalawo obulamu bwa munne.
Weasle ali mu ddwaliro e Nsambya gyeyaddusiddwa okufuna obujanjabi.#