Omubiri gw’Omugenzi hon. Can. Rhoda Nakibuuka Nsibirwa Kalema gukomezeddwawo mu Uganda okuva e Kenya gyeyafiira.
Government ya Uganda yerina obuvunaanyizibwa ku nteekateeka zonna ez’okuziika, era nga wakuziikibwa mu bitiibwa by’eggwanga.
Okusinziira ku ntekateeka ezaafulumiziddwa: Ku Thursday nga 7 August, 2025 omugenzi waakusabirwa mu Lutikko e Namirembe ku ssaawa ssatu ku maky.
Ku lunaku lwe lumu Ogwoto gwakukumibwa mu maka gÓmugenzi e Muyenga Plot 860 William W Kalema Drive ku ssaawa kuminabbiri ezÓlweggulo.
Wagenda kubaawo okusula mu Lumbe e Kiboga nga 8 August, 2025.
Wakuziikibwa nga 9 August, ku ssaawa munaana ez’olweggulo.
Hon.Canon Rhoda Nakibuuka Nsibirwa Kalema afiiridde mu Kibuga Nairobi ekya Kenya mu kiro ekikeesezza olwaleero nga 03 August,2025, gyeyabadde atwaliddwa okwongera okujjanjabwa.
Rhoda Kalema yazaalibwa nga 19 May,1929, naafa nga 03 August,2025 gy’emyaka 96 gyafiiriddeko.
Omugenzi Hon Rhoda Nakibuuka Nsibirwa Kalema yoomu ku baana beyali Katikkiro wa Buganda omugenzi Owek Martin Luther Nsibirwa, era ng’abadde Ssenga w’omumyuka owokubiri owa Katikkiro wa Buganda era Omuwanika Owek. Robert Waggwa Nsibirwa.
Rhoda Kalema abadde mu nnabyabufuzi omuggundiivu mu Uganda era nga ye mubaka omukyala eyasookera ddala okukiika mu parliament, , abadde yebuuzibwako ensonga, yaliko omubaka wa parliament owa Kiboga, yaliko minister w’ebyobusuubuzi,omulwanirizi w’edddembe, era nga n’olutalo olwanunula Uganda okuva mu government ezaaliwo yalwenyigiramu butereevu.
Yoomu ku bannayuganda abaatandiika ekibiina ki Uganda national patriotic Movement ekyeyubula nekifuuka NRM.
Bisakiddwa: Kato Denis