Kulwa family ya Martin Luther Nsibirwa, Omumyuka owokubiri owa Katikkiro wa Buganda Oweek Robert Waggwa Nsibirwa ayogedde ku Ssenga we Rhoda Kalema nti abadde mugatta bantu era buli ekibazitoowerera gyebaddukira.

Ssaabalabirizi w’ekanisa ya uganda Dr.Samuel Steven Kazimba Mugalu yaakulembeddemu Okusinza, era asabye abantu obutegulumiriza wadde nga balina ebifo ebyenkizo nga Rhoda Kalema bw’abadde.
Omulwanirizi we eddembe lyobuntu Maria Matembe yebazizza Omugenzi Can. Rhoda Kalema olwokulwanirira abakyala n’okubagazisa obukulembeze, era eyakola ebintu ebigasa eggwanga lye awatali kukulembeza kwekkusa yekka.
Dr. Gladys Rhoda Nalubowa Kalema Zikusooka Kulw’abaana b’Omugenzi yebazizza mukadde waabwe olwokubalambika saako okubayigiriza obulamu obwabuligyo ekibayambye okubeera munsi eno obulungi.

Rhoda Nalwejje Nakibuuka Nsibirwa Kalema muwala we yaliko Katikkiro wa Buganda Martin Luther Nsibirwa yafiiridde my Ddwaliro e Nairobi ku myaka 96 egy’obukulu.
Yaliko Omubaka mu parliament era ye mubaka omukyala eyasooka, yali Minister, era ajjukirwa nnyo okwenyigira buterevu mu lutalo olwaleeta government ya NRM, okulwanirira enfuga ya ssemateeka n’ebirala.
Okusaba kuno kwetabiddwako Ssabaganzi Emmanuel Ssekitooleko, Katikkiro eyawumula Owekitibwa Dan Muliika, eyaliko Ssaabalamuzi Wakko Wambuzi, abakulembeze mu Bwakabaka, government eyawakati, bannadiini n’abantu abalala bangi.
Bisakiddwa: Ssebuliba Julius