Obukadde bwa shs obusoba mu 650 bwebwetaagisa Okuzimba ekkaddiyizo lya Kibuuka Omumbaale – CBS FM

Date:

 

Jjajja wÓbuyisiraamu Omulangira Dr Kasim Nakibinge Kakungulu ajjukizza Bazzukulu ba Buganda mu Bika byonna okufaayo okukulaakulanya ettaka ly’Ebika, nga bateekako ebintu ebyénkizo ebivaamu ensimbi.

 

Dr Kasim Nakibinge abadde ku Hotel Africana mu Kampala bw’abadde akulembeddemu Omulimu gw’Okusonda ensimbi ez’okuzimba ekkaddiyizo ly’Omulwaanyi nnamige asomwako mu byafaayo eyayitibwanga Kibuuka Omumbaale.

Omulangira Nakibinge agamba nti Okuteeka project ku Ttaka ly’Ebika ly’ekkubo lyokka erigenda okuyitwamu okulitaasa abasaatuusi, wamu n’Okutumbula eby’Obulambuzi mu Uganda.

 

Dr Kasim Nakibinge asabye ebifo nga amakaddiyizo g’Ebika bissibwemu ebiwandiiko ebikakafu ebikwaata ku Bika, n’Okuyambako Abavubuka okulaanyisa Obwavu nga bwaweebwa emirimu mu bifo ebyo.

 

Minister w’ebyobuwangwa ,Ennono, embiri n’Ebyokwerinda Owek Dr Anthony Wamala, yeekokkodde abazzukulu abatunda ettaka ly’Ebika nebabireka mu bbanga, neyeebaza Bazzukulu ba Lwoomwa olwokuyiiya Okuzimba ekkaddiyizo ku butaka bwabwe e Mawokota Mpigi

 

Omukubiriza w’olukiiko lw’Abataka ba Jjajja abakulu b’Obusolya omutaka Augustine Kizito Mutumba, asabye abazzukulu abalina Obukugu obwenjawulo okukwasizaako ebika nga beyambisa obukugu obwo.

 

Omutaka Lwomwa Eria Lwaasi Buuzaabo, asinzidde mukusonda ensimbi nagugumbula abavubuka abesamba obuweereza bw’ekika nga bekwaasa ebya nfunirawa, songa balina obusobozi obwetonderawo emirimu mu bika mwebava.

Minister omubeezi owa tekinologiya Owek Joyce Juliet Nabbossa Ssabugwawo agambye nti Obwetaavu bwokukulaakulanya Ekika ky’Endiga bwabawalirizza okutandikawo ekkaddiyizo lya Kibuuka Omumbaale, era nga ne government eya wakati yakuganyulwamu.

 

Obukadde obusoba mu 650 bwebwetaagisa Okuzimba ekkaddiyizo lya Kibuuka Omumbaale.

 

Share post:

Popular

Also Read

Police Roll Out Security and Traffic Plan for MP Nominations in Kampala

Kampala Metropolitan Police have announced a series of security...

Museveni Pledges to Recruit 1,400 Health Inspectors to Curb Drug Theft

The National Resistance Movement (NRM) Presidential Candidate, General Yoweri...

Jose Chameleone: I Love Bobi Wine as a Brother, But I Belong to NRM

Musician Jose Chameleone has confessed that he doesn’t wish...

Alien Skin Battles for Fangone Forest Name as Businessman Claims Trademark Rights

Musician Alien Skin found himself in a legal battle...