NUP egambye nti tetidde People Power Front – Electoral Commission yegaanye eby’okuwandiisa ekibiina ekiggya

Date:

Ekibiina kya National Unity Platform kirabudde banna kibiina kino obutawudisibwa n’ekibiina ekyerangiridde nga kino baakituumye People Power Front ,nti ebigendererwa by’ekibiina kino kuggya NUP ku mulamwa

Ekibiina kino ekya People Power Front abakitandiseewo omubala bakuba gwegumu ng’ogwa NUP (people power our power)n’obukofiira bambala bwebumu.

Banna PPF baalangiridde langi emyufu, enjeru ne gold nti zebagenda okukozesa.

Ssaabawandiisi w’ekibiina NUP David Lewis Rubongoya ategezezza nti bino byonna ebitandiise okugunjizibwawo baabisuubira nti bijja kukolebwa abali mu buyinza, era n’enkofiira zabwe ezizze ziwambibwa ab’ebyokwerinda ku kitebe kyabwe bandiba nga zebaakozesezza.

Abaatandise People Power Front bwebaabadde batongoza ekibiina

Rubongoya agambye nti ekibewunyisizza kwekuba ng’omubala gwabwe n’obukoofiira nga NUP baabiwandiisa mu mateeka.

Awadde banna kibiina kya NUP amagezi basigale nga bali ku mulamwa ogw’okuleeta enkyukakyuka mu ggwanga nti era abagezaako okubaggya ku mulamwa tebabawa budde.

Akakiiko k’ebyokulonda aka Electoral Commission of Uganda kegaanye eby’okuwandiisa ekibiina ky’ebyobufuzi ekya People Power Front ekifanaganya omubala nékibiina kya NUP

Wabula akakiiko k’ebyokulonda kalabudde abatembeeta ekibiina kino ekya PPF okukikomya nti kubanga bbo ng’akakiiko tebakimanyi,era tebanakiwandiisa mu bibiina bya bufuzi ebimanyidwa mu ggwanha.

Omwogezi wákakiiko ke byokulonda Julius Muchunguzi ategezeza cbs nti tebanawandiisa kibiina kyonna era abakikola bakyamu bandivunaanibwa.

Share post:

Popular

Also Read

Museveni, Ruto Deepen Kenya-Uganda Ties with Eight New Deals in Trade, Transport, and Cross-Border Infrastructure

NAIROBI, KENYA — Kenyan President William Ruto and Ugandan...

Ministers dominate Day Two of NRM Election Petitions Tribunal

The National Resistance Movement (NRM) Election Disputes Tribunal, chaired...

Electoral Commission breaks ground on new headquarters in Lweza

The Electoral Commission (EC) has launched construction of a...

Amuriat steps down for Nandala as FDC gets presidential flagbearer

The Forum for Democratic Change (FDC) has declared Nathan...
Verified by MonsterInsights