Ab’akakiiko akatawulula enkaayana z’ebyokulonda mu NRM mu butongole katandise okuwuliriza okwemulugunya kw’abaavuganya okukwatira ekibiina bendera ku bifo by’obubaka bwa parliament, mu kamyufu akaaliwo nga 17 July,2025.
Abaawangudde bebagenda okuweebwa kaadi y’ekibiina mu kalulu ka bonna ak’omwaka ogujja 2026.
Waliwo bannakibiina abeemulugunya ku byavaamu, nga balumiriza bannaabwe abaalangirirwa ku buwanguzi nti beenyigira mu vvulugu omwali okubba obululu, okugulirira abalonzi n’abaakuliramu eby’okulonda n’ebirala.
Ab’akakiiko kano batudde ku kitebe ky’ekibiina ku Kyaddondo Road mu Kampala.
Munnamateeka w’ekibiina Enoch Barata agambye nti baakafuna abantu 25 abataddeyo okwemulugunya kwabwe ku byava mu kulonda kw’akamyufu ng’abasinga ku bano balumiriza nti abaakuliramu eby’okulonda bennyini bebaakyangakyanga ebyava mu kulonda nebalangiriramu abataawangula.
Agambye nti basuubira n’abalala bangi kubanga okwemulugunya bakuwulira eyo mu bantu.#