Wabaddewo okusika omuguwa wakati wa Bannakibiina kya NRM abatuula ku lukiiko olwa National Executive Council, (NEC), bwebaweereddwa omukisa, okulonda ku kibiina kyekiba kisalawo ku mbiranye eri wakati wa Sipiika wa Parliament Annet Anita Among n’omumyuka wa Ssaabaminister asooka Rebecca Alitwala Kadaaga ku kifo ky’omukyala amyuka Ssentebe w’ekibiina.
Olukiiko lwa NEC lubadde lutudde mu Maka gobwa president Entebbe, nga lukubaganya ebirowoozo ku biteeso ebyavudde mu lukiiko olw’okuntikko olwa CEC ( Central Executive Committee).
Ekifo ekitandikiddwako kibadde kya mukyala amyuka Ssentebe wa NRM ekivuganyizibwako Sipiika Among neeyaliko sipiika Rebbecca Kadaga.
Ssentebe w’ekibiina era omukulembeze we ggwanga Yoweri Kaguta Museveni asoose kutegeeza nga bano bweyabatuuza omu alekere munne olwokaano bombi ne bagaana, era wano wano bombi baweereddwa omukisa okwogera bonna nebagaana okuva mu lwokaano.
Ekiddiridde kubadde kutaganjula ssemateeka wa kibiina kyagamba,ngono alambise nga ssentebe we kibiina kino Yoweri kaguta Museveni bwalina obuyinza ku kifo ekibaako embiranye okwogerako nabavuganya wabeewo alekera munne.
Kyokka kino president akirambise nga bweyakikola bombi nebagaana nga wano obuyinza abuddizza olukiiko lwa NEC.
Ekiddiridde kubadde kuwa mwaganya abakiise ku NEC okuwa endowooza zabwe ku kirina okukolebwa wabula bano baawukanye mu ndowooza, nga abamu baagala bagende mu kalulu akaliyo wiiki ejja,abalala nga baagala kabeeyo mu lutuula lwabwe lwennyini lwebabaddemu, wabula ababadde bawagira akalulu basinze ku balala.
Gyebigweredde ng’olukiiko lusazeewo bombi Anita Among ne Rebbecca Alitwala Kadaaga basigale mu lwokaano,balondebwe mu kalulu akagenda okubeera e Kololo kasalewo.
Mu lutuula luno president Museveni ayambalidde bannabyabufuzi abasukkiridde okuyiwayiwa ensimbi mu kalulu nebabuzaabuza abalonzi, nebatafa ku kyalonda bantu basobola kuweereza ggwanga, wabula ababawa ebinusu.
Agambye nti enkola eyo tekomya kukunafuya byakulonda, wabula n’obuweereza obusaanidde eri abantu.#