“Eby’obufuzi ssi kazannyo, wabula nsonga ezikwatira ddala obutereevu ku bulamu bw’abantu”
Katikkiro Charles Peter Mayiga mwennyamivu olw’abantu abafudde ensonga y’okuggyayo empapula okuvuganya ku ntebe enkulu ey’eggwanga ng’eky’obwakazannyirizi.
“Entebe y’obukulembeze bw’eggwanga yeetaaga okuvuganyizibwako abantu abeteeseteese obulungi era nga booleka ekitiibwa ky’eggwanga, nga balina ensa, abalina ebisaanyizo, obumanyi n’obusobozi bw’okunogera eddagala ebizibu by’abannansi n’okugoberera amateeka g’eggwanga”
Kamalabyonna agamba nti omuwendo gw’abakaggyayo empapula z’okuvuganya ku bwa President bwa Uganda mu kalulu akajja aka 2026, kati abakunuukiriza mu 200 kiringa ekigenderera okunaabuula n’okunafuya eby’okulonda mu ggwanga ekiyinza n’okuleetera abalonzi okubyesamba.#

