MTN Foundation eyongedde okuwagira enteekateeka y’okubangula mu by’okukanika ebintu ebyenjawulo nga beyambisa technology ow’omulembe okuyita mu nkola eya Girls in Technology and Girls with tools initiative.
Ku matikkira g’abawala agayindidde e Kiteetikka Kasangati mu Wakiso, omukungu mu MTN Uganda Kakayi Nsubuga, agambye nti bukyanga nteekateeka eno etandikibwawo aba MTN Foundation ne bannamikago, abavubuka11,000 bebabanguddwa ku bikwaatagana nÓkukanika, ng’Abawala bebakyasinze okuganyulwa.
Kakayi agambye nti musanyufu okulaba nga ne ku matikkira gÓmulundi guno ku bayizi 298 abatikkiddwa, abawala babadde 248, ekibayambye okuggulawo ensi yÉmirimu egibadde giwambiddwa Abavubuka Abalenzi mu Africa ne munsi yonna.
Jamila Mayanja akulira entekateeka ya Smart Girls Foundation agambye nti abawala bongedde okujjumbira emirimu egibadde gisiinga okukolevwa Abasajja naddala mu kukanika, kyokka naabasaba obutakoowa kujjumbira nkozesa ya tekinologiya.
Maria Nakibuule omu ku batikkiddwa nga akuguse mu kutambuza mazzi mu Bizimbe muyite Plamber, agambye nti asobodde okufunira bawala banne emirimu mu bifo mwakolera, era asobodde okubaawulizaako ku bukugu bwaafunye.
Omumyuuka wÓmubaka wa president mu Town council ye Kasangati Maria Lubega, asabye abavubuka okwettanira okunoonya okumanya nÓkufuna obukugu, olwo government ebakwasizeeko nga byebakola babitegeera.
Bisakiddwa: Kato Denis