Makerere University etaddewo ekifo ekyenjawulo ekigenda okukuuma n’okutumbula ebiyiiyizibwa abayizi – CBS FM

Date:

 Makerere University ayanjudde enteekateeka eyokwongera okukwasizaako government mu kutumbula obuyiiya n’okunonyereza, wakati mu kutuukiriza ekiruubirirwa eky’ebirooto bya Uganda ebya 2040 mu byenfuna.

Uganda eruubirirwa okwongera okutumbula ebyenfuna byayo okuva ku buwumbi 6 kwebikulira okutuuka ku buwumbi 550 ng’omwaka 2030 tegunayita.

Abaddukanya Makerere University, bagamba nti mu kawefube w’okutumbula obuyiiya n’okunoonyereza, baakuzimba ekifo ekigenda okukuηaanya abayizi, n’abayiiya abalala bongere ku bukugu mu pulojekiti zebalinawo.

Ekifo ekigenda okuzimbibwa kyakutuumibwa Makerere University Innovation and Technological Hub, era esuubirwa okumalawo obukadde bwa siringisi 20.

Ekifo kino kyakubaamu ebintu ebyenjawulo okuli Innovation studios, ewakwatirwa entambi za Film n’ennyimba, ewanatulwa abayiiya n’ebintu ebyenjawulo, ebyamasanyalaze, ebya Computer, ebyokutunga, 3D printing, nebirala.

Prof Barnabas Nawangwe, amyuka ssenkulu wa  Makerere University, mukwogerako ne Cbs agambye nti bakufuba okulaba ng’ekisaawe ky’obuyiiya kyongerwamu amaanyi okuyita mu nteekateeka eno.

Kinajjukirwa nti mu mwaka 2022, ekitongole kya Global Innovation Index, kyalaga nti Uganda ekwata ekifo kya 119 ku mawanga 132, mu by’okunoonyereza.

Alipoota ya Global Innovation Index yalaga nti mu Uganda wakyaliwo okusoomozebwa kwobutaba nabwananyini ku biyiiye, era nti kino kirina okunogerwa mangu eddagala.

 Makerere University mu ngeri yeemu yataddewo wofiisi ewandiisa ebiyiiye eyatuumibwa Intellectual property office ngeeno esangibwa ku kizimbe kya Central Teaching Facility Two, (CTF2).

Prof Nawangwe, agamba nti kino era kigendereddemu okulwanyisa ekizibu kyebbula ly’emirimu mu Uganda naddala mu bavubuka, oluvanyuma lwokukizuula nti mu myaka 50 ejijja abavubuka obukadde 5 bagenda kuba tebalina mirimu ssinga tewabaawo kikolebwa bunnambiro.

Bisakiddwa: Ddungu Davis

Share post:

Popular

Also Read

Eddy Kenzo Confirms Return to UNMF Leadership After Says The Federation Issues Have Been Resolved

Musician Eddy Kenzo has retracted his statement about retiring,...

Ugandan Parliament Honors Late Kenyan Political Giant Raila Odinga

KAMPALA, Uganda (AP) — Ugandan lawmakers paid tribute Monday...

Ugandan Legislators Renew Calls to Address Teachers’ Pay Disparities

KAMPALA — Ugandan lawmakers are urging the government...

Museveni Urges Patience on Public Pay Raises, Citing Infrastructure as Priority

ADJUMANI – President Yoweri Museveni reaffirmed his government’s commitment...