Omwana ow’emyaka 12 ategeerekeseeko erinnya limu erya Meddie abadde akedde okugenda mu nnimiro, akubiddwa laddu mu nkuba ekedde okutonnya ku kyalo Buluguyi mu gombolola ye Buyanga mu district ye Bugweri.
Ssentebe w’ekyalo ekyo Kibayo Muzamiru ategeezezza nti waliwo n’omwana omulala ow’emyaka 17 ayitibwa Kyayi Ben, naye yakubiddwa laddu eyamusaanze ku ttale ng’agenze okuyimbula ente, ku kyalo Kaibwe Naiwokoke.
Bisakiddwa: Kirabira Fred