Umar Lutalo abadde yegatta ku club ya KCCA mu January w’omwaka guno 2025 ku ndagaano ya myezi 6.
Lutalo kati yegasse ku bazannyi abalala KCCA beyongezayo endagaano okuli ne captain Filbert Obenchan ne Joao Gabriel.
KCCA era eguze abazannyi abalala okwongera okuggumiza ttiimu eno, okuli Ivan Ahimbisibwe, Lazaro Bwambale ne Herbert Ochai.
KCCA season ewedde tebyagitambulira bulungi, nga mu liigi yamalira mu kifo kya 5, ate n’etuuka ne ku final ya Uganda Cup naye Vipers n’egitwalako ekikopo.
Bisakiddwa: Isah Kimbugwe