Ekitongole ekiddukanya ekibuga Kampala ki Kampala Capital City Authority kitongozza ebbinu lyavl Kampala, erimanyiddwa nga Kampala City Festival n’ekigendererwa eky’okutumbula eby’obulambuzi, eby’obuwangwa n’okwongera okutunda ekifaananyi kya Kampala mu bantu.
Ebikujjukko bino byakubeerayo nga 5th- October,2025 e Kololo.

Ebbinu lino lyasooka okubaawo mu 2012 ku mulembe gweyali ssenkulu wa KCCA Janefer Musisi.m Uganda bweyali ejaguza okuweza emyaka 50 egyameefuga.
KCCA ezzeemu okubitongoza, era ng’emikolo gy’okubitongoza gikoleddwa minister omubeezi owa Kampala Kabuye Kyofatogabye ku City Hall mu Kampala.
Ssenkulu wa KCCA Sharifah Buzeki agambye nti ebikujjukko bino bigenda kwongera okusikiriza bannakampala okweyagalira mu kibuga kyabwe.

Buzeki era asabye banna Kampala okujja mu bungi mu bikujjuko bino basanyuke n’okuwagira abantu abagenda okwolesa ebyamaguzi n’ebitone byabwe ebyenjawulo mu bikujjuko bino kubanga n’abayimbi Bagenda kubeerayo mu bungi.
Minister wa Buganda ow’abavubuka, ebyemizannyo n’ebitone Owekitiibwa Robert Sserwanga Ssalongo agambye nti Obwakabaka bwa Buganda bwakuwagira ebikujjuko bino, olw’enteekateeka ezikolebwa okwongera okulambika abavubuka okukola n’amaanyi ate nga bwebeewummuzaamu.
Ssenkulu wa Uganda Tourism Board Juliana Kaggwa agambye nti ebikujjukko bino babirinamu essuubi okutumbula ebyobulambuzi.
Ssentebe w’enteekateeka za Kampala City Festival Shilah Birungi Gandi agambye nti ebikujjuko bino bigendereddwamu okutumbula akatale k’ebintu banna Kampala byebakola, obuyiiya, obuwangwa ,obumu n’ebyobulambuzi.

Abavujjirizi basengekeddwa mu miteeko egyenjawulo Okuli aba platinum nga baakusasula obukadde 250, diamond 150 m, Gold 75 m, Emerald 20 m, silver 10 m, Bronze 5 m, Copper 1 m, n’abantu ba bulijjo rmitwalo etaano.
Birungi agambye nti abavujjirizi abo ensimbi zaabwe zigenda kubazaalira amagoba kubanga KCCA naye yakubaddiza mu ngeri ey’omuggundu.
Bisakiddwa: Ssekajiija Augustus