Bwabadde asisinkanye ba Gganda Boys abaali bamanyiddwa ennyo nga ba The Twins mu Bulange e Mengo, Katikkiro abebazizza okuyitimusa ekitiibwa kyÓbwakabaka , era neyeeyama nti Obwakabaka bwakubakwasizaako okusitula ekitiibwa kya Buganda.
Katikkiro mungeri eyenjawulo yebazizza ba Gganda Boys olwÓkwetonda olwÉnsobi zebaali baakola ku Luyimba lwÉkitiibwa kya Buganda, era nti bano bakoze ky’amaanyi okusomesa abantu mu nsi yonna Ebikwata ku Kitiibwa kya Buganda.
Katikkiro ajjukiza abantu naddala abavubuka nti okuzza Buganda ku ntikko kwaffe ffenna nga buli omu akola obuvunaanyizibwa obugya mu busobozi bwe.
Omuyima wa ba Gganda Boys Omulangira Nicolas Basammulekkere, yebazizza ba Gganda Boys okubeera abawulize ate era abalina Omwoyo gwa Buganda, neyeeyama okutambula nabo.
Denis Mugagga nga yayogedde ku lwa munne Daniel Ssewagudde, ategeezezza nti baliko bingi byebayize okuva lwebatandika okulungamizibwa ku nsonga zÓkuyitimusa ekitiibwa kya Buganda , era nebeeyama okusigala nga baagazisa abantu ba Buganda ne Uganda ebintu byÓbwakabaka, nga bayita mu bitone.
Bisakiddwa: Kato Denis