NUP eddukidde mu kooti etaputa ssemateeka – ewakanya etteeka ly’amagye ga UPDF – CBS FM

Date:

 

Banna Mateeka b’ekibiina ki National Unity Platform nga bali wamu n’abakulembeze b’ekibiina kino baddukidde mu kooti etaputa ssemateeka, bagala esazeemu etteeka ly’amagye eryakayisibwa parliament gyebuvuddeko.

Obuwaayiro obusiinze okubatwala mu kooti, bwebwo obulagira abantu ba bulijjo okuwozesebwa mu kooti z’amagye.

Banna mateeka ba National Unity Platform bakulembeddwamu George Musisi,Shamim Malende ,Erias Luyimbaazi Nalukoola,Akulira oluda oluvuganya gavumenti Joel Ssenyonyo,David Lewis Rubongoya,Lina Zedriga,Muhammad Muwanga Kivumbi n’abalala.

Ssabawandiisi wa NUP David Lewis Rubongoya agambye nti ekibatutte mu kooti kwekubanga ng’abantu abasinga okuwozesebwa mu kooti y’amagye banna kibiina kya NUP.

Agambye nti kikyaamu nnyo abantu ba bulijjo okuwozesebwa mu kooti y’amagye, so nga waliwo kooti za bulijjo ezirina obusobozi obuwozesa abantu bonna.

Akulira oludda oluwabula government Joel Ssenyonyi agambye nti tebaalina mukisa ng’abavuganya government mu parliament okulambulula ensonga zabwe etteeka bweryayanjulwa mu parliament, nga kati bagala kooti etaputa ssemateeka ekole ogwaayo.

 

Kinajukirwa nti kooti ensukulumu yali yasazaamu ekya kooti y’amagye obutaddamu kuwozesa bantu ba bulijjo, wabula ennoongosereza nezikolebwa etteeka neridda mu parliamemt era neziyisibwa.

Munnongoosereza ezaayisibwa era NUP zewakanya, zezookuwa olukusa kooti z’amagye okuwozesa abantu ba bulijjo abateeberezebwa okusangibwa n’ebintu ebiteeberezebwa okubeera ez’amagye.

Bisakiddwa: Sharif Lukenge

Share post:

Popular

Also Read

Parliament Passes Bill to Professionalize Teaching Sector

KAMPALA, Uganda — Parliament passed the National Teachers Bill,...

Deputy Speaker Tayebwa Reassures Diplomats On Sovereignty Bill Consultations

KAMPALA, Uganda — Deputy Speaker of Parliament Thomas Tayebwa...

State House Unit Launches Global Webinar Series To Boost Diaspora Engagement

KAMPALA, Uganda — Remittance inflows from Uganda’s diaspora reached...