Katikkiro alambudde abalimi b’emmwanyi mu Kyaggwe – abakubirizza bonna bayingire ebibiina by’obwegassi – CBS FM

Date:

Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga asabye abalimi nÁbalunzi mu Bwakabaka okuwabulangana nÓkuwaηana Amagezi ku nnima ezza amagoba, bonna bagaggawalire mu Mwaanyi.

Katikkiro abyoogeredde mu Ssaza Kyaggwe bwabadde alambula abalimi bÉmwaanyi okuyita mu nteekateeka ya Mwaanyi Terimba, efuuse ensonga mu Buganda ne Uganda yonna.

Katikkiro agambye nti obutawaηana magezi ku byobulimi kaba kabonero akooleka obuteeyagaliza, mungeri eyenjawulo naasaba bonna abalimye Emwanyi beesogge ebibiina byÓbwegassi.

Katikkiro akubirizza abavubuka okukola nga tebeebalira , kwekulabula ba Ngalobunani nti ebiseera byabwe ebyobukadde bigenda kubakaluubirira.

 

Mu mbeera yeemu naasaba abantu ba Kabaka okukomya okusabiriza bannabyaabufuzi ssente, wabula babateeke ku nninga babateeseze ebibazimba.

 

Minister wÉbyobulimi Obulunzi nÓbwegassi Owek Hajji Amiisi Kakomo, agambye nti abantu ba Kabaka bongedde okujjumbira Emwaanyi , ekiyambye ku nkulaakulana yaabwe nébitundu mwebava.

 

Omwami wa Kabaka amukulemberako essaza Kyaggwe Ssekiboobo Vinvent Bintubizibu, agambye nti bongedde amaanyi mu kubunyisa ennimiro zÉmmerezo zÉmwaanyi.

Ssenkulu wa BUCADEF Omuk Ben Ssekamatte agambye nti essira lissiddwa nnyo ku kwagazisa abavubuka okulima emmwaanyi era asabye abazadde abalina ettaka okuwagira Abaana baabwe babawe ettaka balimireko.

Kimuli Eddy omu ku bavubuka abalambuddwa ku kyaalo Makukuba , awaabidde abavubuka abataagala kukola, nebaviirako obumenyi bwÁmateeka okweyongera buli olukya.

 

Omubaka we Nakifuma mu lukiiko lweggwanga olukulu Ssimbwa Fred yebazizza Obwakabaka olwa kaweefube assiddwa mu kusitula embeera zÁbantu naddala mu byobulamu, Ebyenjigiriza nensonga endala nyingi.

 

Bisakiddwa: Kato Denis

 

Share post:

Popular

Also Read

Emmanuel Lwasa Speaks Out After Ex-Wife Nkyejwe Drags Him to Court Over Gangu Land Dispute

Masaka-based businessman Emmanuel Lwasa has spoken out after his...

Spice Diana Dismisses Romance Claims With Fik Fameica, Says She’s Taken

Singer Spice Diana has addressed the constant rumours linking...

“Don’t Film Us” – Chosen Becky Clashes With YouTuber Kasuku

Musician Chosen Becky threatens to sue media personality and...

Uganda pivots to Eastern Europe to boost wildlife and cultural tourism – UG Standard

MOSCOW — A delegation of Ugandan tour operators has...