Omwami wa Kabaka atwala essaza Butambala, Katambala Al Hajji Sulaiman Magala, ayimiriza ssentebe wa ttiimmu y’essaza Hajji Adam Ggolooba Ntale, ebbanga lya mipiira 2 olw’ebyo ebyaliwo ku mupiira Butambala ng’ettunka ne Ssingo e Mityana ku Sunday nga 24 August,2025.
Omupiira guno gwayiika mu kitundu ky’omuzannyo eky’okubiri oluvanyuma lwa Butambala okugaana okukomawo mu kisaawe, nga balumiriza nti goolo ya Ssingo eyekyenkanyi yateebwa mu misaawe mulimu emipiira emirala ekikontana namateeka g’omupiira.
Kati Katambala Hajji Sulaiman Magala agambye nti Butambala okugaana okumaliriza omupiira guno yali nsobi ezakolebwa nabamu abaddukanya ttiimu eno okuli ne ssentebe Hajji Adam Ntale.
Kati obuvunanyizibwa bw’okuddukanya ttiimu ya Butambala emipiira 2 egiddako buli mu mikono gya Katambala n’olukiiko lwe.
Butambala eri mu kibinja Muganzirwazza mu mpaka za masaza, nga Kyaggwe ekikulembedde n’obubonero 18, Kkooki yakubiri n’obubonero 12, Ssingo yakusatu n’obubonero 11, Kabula yakuuna n’obubonero 8, Butambala yakutaano n’obubonero 6 ate nga Mawogola yesembye n’obubonero 5.
Bisakiddwa: Isah Kimbugwe