Ttiimu y’essaza Gomba ewangudde omupiira ogw’okubiri mu mpaka z’amasaza ga Buganda ez’omupiira ogw’ebigere ez’omwaka guno 2025, ekubye Busujju goolo 2-0 mu mupiira oguzannyidwa mu kisaawe e Kabulasoke.
Goolo eziwadde Gomba obuwanguzi zitebeddwa abazannyi Okwi Simon Peter ne Robert Ssewanyana, zombi ziteebeddwa mu kitundu ekisooka.
Obuwanguzi bwongedde okutekawo obunkenke ku ttiimu ya Busujju okuva mu kibinja, nga kati esigazza omupiira gumu gw’enzannya ne Buddu e Kakindu, ate Gomba esigazza omupiira gumu gwenazannya ne Buluuli e Migyera.
Buluuli ekyakulembedde kibinja Bulange n’obubonero 15, Busujju yakubiri n’obubonero 15, Ssese yakusatu n’obubonero 12, Buddu yakuuna n’obubonero 09, Gomba yakutaano n’obubonero 09 ate nga Busiro esembye n’obubonero 08.
Emipiira egiddako mu kibinja kino gigenda kuzannyibwa ku Saturday nga 30 ne Sunday nga 31,August,2025, Ssese yakuzannya ne Buddu e Lutoboka Kalangala, ate Buluuli yakuzannya ne Busiro e Migyera.
Bisakiddwa: Isah Kimbugwe