President wa Uganda Yoweri Kaguta Museveni atenderezza eyaliko minister w’ebyemawulire era abadde omuwabuzi we ku nsonga z’amawulire omugenzi Marry Karooro Okurutu, amwogeddeko nti obuwereza bwe bubadde bwankizo naddala mukwagazisa abakyala okwenygira mu by’obukulembeze, n’okulwanirira eddembe lyabwe.
President Museveni agambye nti ng’ekibiina kya NRM tekinagya mu buyinza, abakyala baali basosolwa era nga batya okwenyigira mu kifo ky’obukulembeze kyonna.
Wabula nti Mary Karooro Okurutu ebiseera ebyo yakola nnyo okulaba nti abakyala bawulirwa era baweebwa ekitibwa, sso nga ate NRM bweyakwata obuyiinza yayongera okubasembeza ku mwanjo.
President Museveni obubaka bwe bumusomeddwa omumyuka w’omukubiriza wa Parliament Thomas Tayebwa.
Mary Karooro Okurutu aziikiddwa ku biggya bya bajjajjabe ku kyalo Katungu Hill, Ishaka municipality mu district ye Bushenyi.
Eyaliko Ssabaminister wa Uganda Dr. Ruhakana Rugunda ayogedde ku mugenzi nti abadde mwesigwa munkola ye ey’emirimu.
Agambye nti omugenzi bweyali minister waguno naguli mu office ya Ssabaminister, eggwanga bweryalumbwa ekirwadde kya Covid 19, Karooro Okurutu abantu bamwesiga ne bawaayo ensiimbi n’ebintu ebirala okuddukirira abali mu bwetavu.
Omubaka wa Parliament owa Igara East mu district ye Bushenyi agambye nti ye talabanga ku muntu mulalal alina mazima era ow’eddiini nga Marry Karooro Okurutu, nasaba mukama katonda amusaasire.
Abaana naba family bagambye nti bafiiriddwa omuntu abadde owenjawulo era empangi eyamanyi mu family yabwe.
Karooro Okurutu aziikiddwa mu bitibwa bye ggwanga ebijjuvu, n’okumukubira emiziinga 21.
Marry Karooro Okurutu afiiridde ku myaka egyobukulu 71, nga yafira mu ddwaliro e Nairobi mu Kenya.#