Eyali Kaggo Ttofiri Kivumbi Malookweza afudde ku myaka 96 egy’obukulu – CBS FM

Date:

Eyaliko omwami wa Kabaka owéssaza Kyaddondo Kaggo  Ttofiri Kivumbi Malookweza, Mukama amujjuludde ku myaka 96 egyóbukulu, ng’abadde abuzaayo onwezi gumu okuweza 97.

Ttofiri Malookweza afiiridde mu makaage e Kazo mu Kyaddondo, abadde yebase wakati mu kire kyénkuba etonnye awo mu budde obwámalya gékyemisana nga 16 August,2025.

Owek.Ttofiri Kivumbi Malookweza yaweereza ng’omwami w’essaza Kyadondo okuva mu 1994 okutuuka mu 2013.

Owek Malokweza ajjukirwa nnyo ngómu ku baweereza b’Obwakabaka abaasookera ddala ngÓbwakabaka bwakazzibwawo mu 1993, era yasima omusingi gw’obukulembeze essaza eryo kwe litambulira.

Ngóggyyeeko okuweereza obwakabaka Owek Ttofiri Malokweza abadde mukulembeze mu eklezia Katolika, yaweebwa nékitiibwa ekyóbusirikale bwa Paapa.

Omwami wa Kabaka Owéssaza Kyaddondo aliko kati Kaggo Hajji Muhammad Magandaazi Matovu, akungubagidde omugenzi Malokweza gwágambye nti baamuyigirako bingi ebibayambye okutambuza essaza lino.

Ajjukizza nti Omugenzi abadde nómwoyo gwa Buganda ogutafa, nti era bwe yakwasibwa essaza yasooka kukoleranga mu muti, oluvannyuma náteekawo weema, ngábakulembeze ba government eyawakati bagaanidde mu bizimbe bya Buganda.

Mu mwaka 2021, Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II yasiima emirimu gyeyamuweereza, naamuwa ejjinja ery’omuwendo.

Minisita wa Buganda owa government ezébitundu Owek Joseph Kawuki, yebazizza Omugenzi olwokubeera Omumuli mu buweereza bwa government ez’ebitundu, n’Okwagala essaza Kyaddondo.#

 

 

 

Share post:

Popular

Also Read

Prima Kardarshi Explains Why She Lives Separately From Her Boyfriend and Why She Avoids Weddings

Socialite and beautician Prima Kardarshi has given her stance...

Da Agent Shares Emotional Story of Growing Up Poor in Bwaise, Surviving on Jackfruit Seeds

Lugaflow rapper Da Agent, real name Ivan Wabwire, has...

MamiDeb Considers Having Children Through Surrogacy and Adoption Following Cosmetic Surgery

Businesswoman and reality TV star, MamiDeb, real name Deborah...

How GROW Project business clinics will empower female entrepreneurs – Xclusive News

​KAMPALA, UGANDA:– In a significant move to bolster the...