Olukiiko oluddukanya liigi ya babinywera eya Uganda Premier League lufulumizza ensengeka y’emipiira egya round esooka egya season ejja eya 2025/26.
Ensengeka zino zigenze okufulumizibwa nga FUFA yakamala okulangirira enzannya empya eya liigi eno, nga kati club zonna 16 zigenda kuvuganya mu round 3.
Okusinzira kunsengeka ezifulumizidwa, liigi eno egenda kutandika nga 26 Aeptember.
Emipiira egy’omutendera gwa round esooka gigenda kukomekerezebwa nga 14 February, 2026.
Club zonna 3 ezasumusibwa okuzannya mu liigi eno ya season ejja, okuli Buhimba United, Calvary ne Entebe UPPC zonna zitekeddwa munsengeka zino.
Nga 26 September,2026 liigi eno lw’egenda okutandika wakuberawo emipiira 2, nga URA ejja kukyaza club ya KCCA e Nakivubo, ate nga Express mukwano gwabangi ejja kukyaza club ya Kitara mu kisaawe e Nakivubo.
Enkeera nga 27, Mbarara City ejja kuttunka ne Lugazi, Calvary ejja kuzannya ne UPDF, Buhimba United yakuzannya ne Maroons, Police yakuzannya ne Entebe UPPC, SC yakuzannya ne BUL.
Omupiira gwa Vipers nga ettunka ne NEC gwakulagibwa olunaku olulala lwe gunazannyibwa ,olw’okuba club zino zigenda kukikirira Uganda mu mpaka za Africa eza CAF Champions League ne CAF Confederations Cup.
Bisakiddwa: Isah Kimbugwe