Enjala ezzeemu okutta abantu e Kalamoja – 10 bagambibwa okuba nti bebaakasangibwa mu mayumba nga bafudde enjala – CBS FM

Date:

Enjala ani amuwadde akatebbe nate ezeemu okuzingako ebendobendo lye Karamoja,  abantu abawerako kikakasiddwa nti batandise okutondoka nga bwebafa enjala.

Omubaka wa Dodoth North ekisangibwa mu district ye Kaabong, Komol Joseph Miidi ategeezezza  parliament  nti mu nnaku ntono eziyise,mu district ye Kaabong ,abantu 10 bebakategerekekako nti baafudde enjala eyazingako ekitundu.

Omubaka agambye nti emmere gyebaali balimye yafa olw’ekyeya, kyokka nga netwalibwayo abasuubuzi eri ku bbeeyi ya waggulu abatuuze baavu tebagisobola kugigula.

Awadde ekyokulabirako, nti kilo y’obuwunga eri wakati wa shs 2000 – 2500/=, abantu abasinga e Kaboong tebasobola kubwetusaako, kyokka nababeera basobodde bubeera bwakwekwata abalala nabafikka.

Omubaka Komol Joseph Miidi awanjagidde government ebafunire emmere mu bwangu, okutaasa obulamu bwabo aboolekedde okufa olw’enjala e Kalamoja.

Ssabaminister wa Uganda Robinah Nabbanja agambye nti government egenda kusitikiramu ebaweereze emmere.

Share post:

Popular

Also Read

Retired Major Godfrey Katamba Assumes Office as Kabale RDC, Vows to Tackle Corruption and Sectarianism – Xclusive UG.

Kabale-Kabale District has today witnessed a leadership transition at...

Kagwirawo Launches 3-Month ‘EYASE’ Promo – Xclusive UG.

Kagwirawo, Uganda’s homegrown online beFng plaHorm, has today launched...

Uganda, Kenya Ink Agreement to Boost Trade Through Standards

KAMPALA, Uganda — The Uganda National Bureau of Standards...
Verified by MonsterInsights