Enjala ani amuwadde akatebbe nate ezeemu okuzingako ebendobendo lye Karamoja, abantu abawerako kikakasiddwa nti batandise okutondoka nga bwebafa enjala.
Omubaka wa Dodoth North ekisangibwa mu district ye Kaabong, Komol Joseph Miidi ategeezezza parliament nti mu nnaku ntono eziyise,mu district ye Kaabong ,abantu 10 bebakategerekekako nti baafudde enjala eyazingako ekitundu.
Omubaka agambye nti emmere gyebaali balimye yafa olw’ekyeya, kyokka nga netwalibwayo abasuubuzi eri ku bbeeyi ya waggulu abatuuze baavu tebagisobola kugigula.
Awadde ekyokulabirako, nti kilo y’obuwunga eri wakati wa shs 2000 – 2500/=, abantu abasinga e Kaboong tebasobola kubwetusaako, kyokka nababeera basobodde bubeera bwakwekwata abalala nabafikka.
Omubaka Komol Joseph Miidi awanjagidde government ebafunire emmere mu bwangu, okutaasa obulamu bwabo aboolekedde okufa olw’enjala e Kalamoja.
Ssabaminister wa Uganda Robinah Nabbanja agambye nti government egenda kusitikiramu ebaweereze emmere.