Electoral Commission of Uganda efulumizza enteekateeka empya ey’okuwandiisa abanaavuganya mu kalulu ka 2026 – CBS FM

Date:

Akakiiko k’ebyokulonda aka The Electoral Commission of Uganda kalangiridde ennaku z’okusunsulirako abaagala okuvuganya ku ky’obwapresident, obubaka bwa Parliament ne government ez’ebitundu mu kulonda okujja okwa 2026.

Abaagala obwapresident baakusunsulwa nga 23 ne 24 September, enteekateeka eno ekyusiddwa okuva ku nnaku z’omwezi 02 ne 3rd October ezaali zaasooka okulangirirwa.

Abavuganya ku bwa president bakukuba kakuyege okuva nga 04 October,2025 okutuuka nga 12 January,2026.

Abanaavuganya ku bifo bya government ez’ebitundu batandika nga 3 okutuusa nga 12 September.

Aba government ez’ebitundu bakunoonya akalulu wakati wa nga 13 September,2025 ne 12 January,2026.

Abanaavuganya ku bifo by’ababaka ba Parliament bakusuunsulwa nga 16 ne 17 September,2025.

Ababaka bakunoonya akalulu okuva nga 23 September,2025 okutuuka nga 12 January,2026.

Abanaakiikirira ebibinja by’abantu eby’enjawulo basunsulwa okuva nga 8 okutuusa nga 12 December,2025.

Ssentebe w’akakiiko k’ebyokulonda omulamuzi Simon Byabakama, yayaanjudde enteekateeka eno ku wofiisi z’akakiiko kebyokulonda mu Kampala.#

Share post:

Popular

Also Read

Mary Karooro Okurut eyaliko minister afudde – 1954 – 2025 – CBS FM

Eyaliko Minister ow’emirimu egyenjawulo mu wofiisi ya Ssaabaminister wa...

Uganda eyongedde okutangaaza emikisa gyayo mu CHAN 2024 – ekubye Niger 2 – 0 – CBS FM

  Ttiimu y’eggwanga ey’omupiira ogw’ebigere eya Uganda Cranes eyongedde okutangaaza...

Kansai Plascon Donates UGX 300M to Fund Heart Surgeries for Ugandan Children at India Day – Xclusive UG.

The Kololo Independence Grounds were covered with colour, music,...
Verified by MonsterInsights